Isaiah 49:14-21


14Naye Sayuuni n’ayogera nti, “Mukama andese,
era Mukama wange anneerabidde.”

15 a“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
naye nze sirikwerabira.
16 bLaba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange;
ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
17 cAbaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza
era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 dYimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.

19 e“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa,
kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo,
era abo abakuteganya
banaakubeeranga wala.
20 fAbantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 gN’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
naye ate bano, baava wa?’ ”
Copyright information for LugEEEE